Buganda Kingdom
Buganda Kingdom - Buganda Anthem lyrics
Your rating:
Okuva edda n'edda eryo lyonna Eryo eggwanga Buganda Nti lyamanyibwa nnyo eggwanga lyaffe Okwetoloola ensi yonna Abazira ennyo abatusooka Baalwana nnyo mu ntalo Ne balyagala nnyo eggwanga lyaffe Naffe tulyagalenga Ffe abaana ba leero ka tulwane Okukuza Buganda Nga tujjukira nnyo bajjajja baffe Baafirira ensi yaffe Nze naayimba ntya ne sitenda Ssaabasajja Kabaka Asaanira afuge Obuganda bwonna Naffe nga tumwesiga Katonda omulungi ow'ekisa Otubeere Mukama Otubundugguleko emikisa gyo era Bbaffe omukuumenga